Daniel 11:28 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’obukiikakkono aliddayo mu nsi ye n’obugagga bungi, n’omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu. Era alikola kye yateekateeka mu mutima gwe n’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'ebukiikakkono, aliddayo mu nsi ye n'obugagga obungi. N'omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by'alyagala, n'alyoka addayo mu nsi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'ebukiikakkono, aliddayo mu nsi ye n'ebyobugagga bingi by'anyaze. Omutima gwe guliba gukyaye eddiini y'abantu ba Katonda. Bw'alimala okukola eby'okugiyigganya, n'alyoka addayo mu nsi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka addayo mu nsi ye n'obugagga obungi: n'omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by'alyagala, n'alyoka addayo mu nsi ye.