Daniel 11:29 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu bbanga eryagerebwa, alirumba obukiikaddyo nate, naye ku luno tekiriba nga bwe kyali mu biro eby’olubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyategekebwa aliddayo, alirumba ensi y'ebukiikaddyo, naye ku mulundi guno tekiriba nga bwe kyali mu kusooka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Aliddayo mu kiseera Katonda kye yategeka, n'azinda ensi y'ebukiikaddyo. Naye ku mulundi guno, tekiriba nga bwe kyali mu kusooka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyalagirwa aliddayo, aligenda mu bukiika obwa ddyo: naye mu biro eby'oluvannyuma tekiriba nga bwe kyali mu biro eby'olubereberye: