Daniel 11:30 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmeeri ez’e Kittimu zirimulwanyisa era aliggwaamu amaanyi, n’oluvannyuma alikyuka okuddayo n’asunguwalira endagaano entukuvu. Bw’aliddayo alikolagana n’abo abakyawa endagaano entukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebyombo eby'e Kittimu birijja okumulumba n'atya, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by'alyagala, aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga emmeeri za Kittimu zirijja okumulumba, n'atya, n'addayo emabega, n'amalira obusungu bwe ku ddiini y'abantu ba Katonda, n'agiyigganya, n'adda ku kussanga omwoyo ku abo abaleseeyo eddiini eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebyombo eby'e Kittimu birijja okumulumba: kyaliva anakuwala, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by'alyagala: aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu.