Daniel 11:31 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Amaggye ge galigolokoka okugwagwawaza awatukuvu wa yeekaalu era aliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. N’oluvannyuma balissaawo eby’emizizo ebireeta ennaku n’okubonaabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aliweereza abasserikale okwonoona awatukuvu, n'e kigo. Baliggyawo okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne bateekawo eky'omuzizo ekizikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliweereza ab'amagye, ne bajaajaamya Essinzizo, n'ekigo kyalyo ekigumu. Baliggyawo okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne bateekawo eky'omuzizo ekyenyinyalwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era emikono giriyimirira ku luuyi lwe, era baligwagwawaza awatukuvu, kye kigo, era baliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna, baliyimiriza eky'omuzizo ekizikiriza.