Daniel 11:32 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alisendasenda abo abaajeemera endagaano, naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliyimirira ne bamuwakanya n’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alikozesa ebigambo ebisendasenda, okukyamiza ddala abo abaleka endagaano. Naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n'amaanyi, baliguma ne beerwanako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alikozesa ebigambo ebiwaanawaana, okukyamiza ddala abo abaleseeyo eddiini yaabwe, naye abo abamanyi Katonda waabwe, baliguma ne beerwanako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abalikola obubi nga baleka endagaano alibakyamyakyamya n'okwegonza: naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n'amaanyi, balikola eby'obuzira.