Daniel 11:33 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ab’amagezi baliwabula bangi, newaakubadde nga balittibwa, n’abalala ne bookebwa omuliro, n’abalala ne bawambibwa, n’abalala ne banyagibwa okumala akaseera katono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi, newakubadde nga baliba battibwa mu ntalo, oba mu kwokebwa omuliro, n'abalala nga banyagibwa ne basibibwa okumala ekiseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abategeevu abali mu ggwanga, baliyigiriza bangi newaakubadde balimala ekiseera nga battibwa mu ntalo, oba nga bafiira mu kwokebwa omuliro, n'abalala nga banyagibwa ne basibibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi: naye ekitala n'omuliro, okusibibwa n'okunyagibwa, biribagwisa ennaku nnyingi.