Daniel 11:34 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baligwa baliyambibwako akatono era bangi abatali ba mazima balibasendasenda ne babeegattako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baligwa, balifuna n'okubeerwa okutono, naye bangi abalibeggattako baliba ba nkwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'okuttibwa kukyagenda mu maaso, abantu ba Katonda abeesigwa balifunayo ku buyambi obutonotono, wadde ng'abalibeegattako bangi baliba ba nkwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baligwa, balibeerwa n'okubeerwa okutono: naye bangi abalyegatta nabo n'okwegonza.