Daniel 11:35 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku b’amagezi balyesittala, balyoke balongoosebwe, batukuzibwe, baleme kuba na bbala mu kiseera eky’enkomerero, kubanga ebiro ebyo byategekebwa era birituukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu ku abo abalina amagezi balittibwa, naye ekirivaamu, abantu balirongoosebwa, n'okutukuzibwa, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero, Katonda kye yategeka, lwe kirituuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku bantu abo abategeevu, balittibwa, naye ekirivaamu, abantu balirongoosebwa, ne batukuzibwa, ne baggyibwako buli bbala, okutuusa ekiseera eky'enkomerero, Katonda kye yategeka, lwe kirituuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abamu ku abo abalina amagezi baligwa okubawoomya, n'okubalongoosa, n'okubatukuza, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero: kubanga kya kiseera ekyalagirwa ekitannatuuka.