Daniel 11:36 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kabaka alikola nga bw’ayagala. Alyenyumiriza ne yeegulumiza okusinga katonda yenna, era alyogera ebitawulikikangako ku Katonda wa bakatonda. Aliba mugagga okutuusa ebiro eby’obusungu lwe birituukirira, kubanga ekyasalibwawo kiteekwa okutuukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka ow'ebukiikakkono, alikola nga bw'ayagala, era alyegulumiza, alyekulumbaza nti asinga ba katonda bonna. Alyogera eby'ekitalo ebinyooma Katonda wa bakatonda, era aliraba omukisa okutuusa ekiseera eky'okubonerezebwa kwe lwe kirituuka, kubanga ekyo Katonda kye yategeka kijja kutuukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka oyo ow'ebukiikakkono, alikola nga bw'ayagala, era alyegulumiza. Alyekulumbaza nti asinga balubaale bonna, era alyogera ebitayogerekeka, ebinyooma Katonda afuga balubaale bonna. Alisobola okwongera okukola bw'atyo, okutuusa ekiseera eky'okumubonereza lwe kirituuka, kubanga ekyo Katonda kye yategeka kijja kutuukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabaka alikola nga bw'alyagala: era alyegulumiza, alyekuza okusinga katonda yenna, era alyogera eby'ekitalo ku Katonda wa bakatonda: era aliraba omukisa okutuusa obusungu lwe bulituukirira: kubanga ebyateesebwa birikolebwa.