Daniel 11:37 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Talissa kitiibwa mu bakatonda ba jjajjaabe newaakubadde oyo abakazi gwe beegomba, so talissa kitiibwa mu katonda yenna, naye alyegulumiza okusinga bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka oyo talirowooza ku bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza ku katonda yenna: kubanga alirowooza nti ye y'abasinga bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka oyo talissa kitiibwa mu balubaale ba bajjajjaabe, wadde mu oyo, abakazi gwe baagala. Talibaako lubaale n'omu gw'assaamu kitiibwa, kubanga alirowooza nti ye ye abasinga bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So talirowooza bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza katonda yenna: kubanga alyekuza okusinga bonna.