Daniel 11:38 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kifo ky’abo, alissa ekitiibwa mu katonda w’embiri, katonda ataamanyibwa bajjajjaabe gwalitonera zaabu ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’ebirabo eby’omuwendo omungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu kifo ky'okuwa bakatonda abo ekitiibwa, alikiwa katonda w'ebigo, bajjajjaabe gwe bataamanya. Alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo omungi, n'ebintu ebirala ebisanyusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kifo ky'okussa ekitiibwa mu balubaale abo, alikissa mu lubaale w'ebigo ebigumu, bajjajjaabe gwe bataamanyaako. Alimutonera zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, era n'ebintu ebirala ebisanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu kifo kye aliwa ekitiibwa katonda w'ebigo: era katonda bajjajjaabe gwe bataamanya alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo omungi, n'ebintu ebisanyusa.