Daniel 11:39 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alirumba embiri ez’amaanyi ennyo ng’ayambibwako katonda omugwira, era abo abalissa ekimu naye, alibawa ekitiibwa kinene, n’abawa n’okufuga abantu bangi, n’ensi n’agigabanyaamu olw’amagoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alizimba ebigo ebigumu nga ayambibwa katonda we oyo omugenyi. Buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa, era alibawa okufuga abantu bangi, era aligabanya ensi okugibaguza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alikozesa abantu abasinza lubaale oyo omugwira, okukuuma ebigo bye ebigumu. Bonna abakkiriza lubaale oyo, alibongerako ekitiibwa, n'abafuula bafuzi ba bangi, era alibagabanyiza ensi okubaweera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliyinza ebigo eby'amaanyi amangi katonda omugenyi ng'amuyamba: buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa: era alibawa okufuga bangi, era aligaba ensi olw'omuwendo.