Daniel 11:4 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma obwakabaka bwe bulisasika ne bugabanyizibwa eri embuyaga ennya ez’omu ggulu. Ezzadde lye teriribugabana, era n’obwakabaka obwo tebuliba na buyinza bwe yalina kubanga obwakabaka bwe bulisigulwa ne buweebwa abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka bw'alimala okwenyweza mu buyinza, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu ebitundu bina; naye tebuligabirwa zzadde lye, era tebulifugibwa n'obuyinza ye nga bwe yalina: kubanga obwakabaka bwe bulisalwasalwamu ne butwalibwa abalala abatali ba zzadde lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bw'alimala okwenyweza mu buyinza, obwakabaka bwe bulimenyekawo, ne bugabanyizibwamu ebitundu bina, eky'ebuvanjuba n'eky'ebugwanjuba, eky'ebukiikakkono n'eky'ebukiikaddyo. Naye tebuliweebwa ba zzadde lye, wadde okufugibwa n'obuyinza nga ye bwe yalina, kubanga obwakabaka bwe bulisalwasalwamu, ne butwalibwa abalala abatali abo ab'ezzadde lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'aliyimirira, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu eri empewo ennya ez'omu ggulu: naye tebuligabirwa zzadde lye, so tebuliba ng'okufuga kwe kwe yafuga: kubanga obwakabaka bwe bulisimbulwa, bulisimbulirwa abalala awali abo.