Daniel 11:40 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biro eby’enkomerero kabaka w’obukiikaddyo alimulumba, naye kabaka w’obukiikakkono alifubutuka n’ajja okumusisinkana ng’alina amagaali n’abeebagala embalaasi, n’emmeeri nnyingi, era alirumba ensi nnyingi n’aziyitamu ng’embuyaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera eky'enkomerero kabaka w'obukiikaddyo alimusindika, ne kabaka w'obukiikakkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng'alina amagaali, n'abeebagala embalaasi, n'ebyombo ebingi. Era alirumba ensi nnyingi, alyanjaala mu zo, n'aziyitamu ng'amazzi ag'omujjuzo, n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera eky'oluvannyuma ekya kabaka w'ebukiikakkono, bwe kiriba kinaatera okutuuka, kabaka w'ebukiikaddyo alimulumba. Ne kabaka oyo ow'ebukiikakkono, alivaayo n'amulwanyisa n'amaanyi ge gonna, ng'akozesa amagaali, n'abeebagadde embalaasi, era n'emmeeri ennyingi. Alirumba ensi nnyingi, n'ayanjaala mu zo, n'aziyitamu ng'amazzi ag'omujjuzo, n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu kiseera eky'enkomerero kabaka w'obukiika obwa ddyo alimusindika: ne kabaka w'obukiika obwa kkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng'alina amagaali, n'abeebagala embalaasi, n'ebyombo ebingi: era aliyingira mu matwale alyanjaala, n'agayitamu.