Daniel 11:41 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alirumba Ensi Ennungi n’awamba n’amawanga mangi, naye Edomu ne Mowaabu n’abakulembeze ba Amoni balimuwona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alirumba ne nsi ey'ekitiibwa, n'ensi endala ziriwangulwa. Naye zino zo ziriwonyezebwa mu mukono gwe: Edomu, ne Mowaabu, n'ekitundu ekisinga obunene ekya Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alirumba n'Ensi Eyeekitiibwa, era alitta bangi. Naye ensi zino zirimuwona: Edomu, ne Mowaabu, n'ekitundu ekisinga obunene ekya Ammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliyingira ne mu nsi ey'ekitiibwa, n'amatwale mangi agalisuulibwa: naye bano baliwonyezebwa mu mukono gwe, Edomu, ne Mowaabu, n'abakulu ab'omu baana ba Amoni.