Daniel 11:43 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alifuga amawanika aga zaabu ne ffeeza, n’eby’obugagga byonna ebya Misiri, n’afuula Abalibiya n’Abaesiyopiya okuba abaddu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aliba n'obuyinza ku zaabu ne ffeeza, omutereke, ne ku bintu byonna eby'omuwendo omungi eby'omu Misiri. Abalibya n'Abaesiyopya balimugoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliba n'obuyinza ku zaabu ne ffeeza omutereke, ne ku byobugagga ebirala ebya Misiri. Aliwangula Abalibiya, n'Abatiyopiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye aliyinza ebintu ebitereke ebya zaabu n'ebya ffeeza, n'ebintu byonna eby'omuwendo omungi eby'omu Misiri: n'Abalibya n'Abaesiyopya balimugoberera: