Daniel 11:44 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye amawulire agaliva mu buvanjuba ne mu bukiikakkono galimukanga, olwo n’alyoka agolokoka mu busungu obungi ennyo okugenda okuzikiriza n’okumalawo bangi ku bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye amawulire agaliva ebuvanjuba ne mu bukiikakkono galimutiisa, era alivaayo n'obusungu bungi okuzikiririza ddala abantu bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye amawulire agaliva ebuvanjuba n'ebukiikakkono galimutiisa, era alivaayo n'obusungu bungi, okuzikiriza n'okusaanyizaawo ddala abantu bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebigambo ebiriva mu buvanjuba ne mu bukiika obwa kkono birimweraliikiriza: era alivaayo nga yeejuumudde nnyo okuzikiriza n'okumalirawo ddala abangi.