Daniel 11:5 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kabaka ow’obukiikaddyo aliba w’amaanyi, naye omu ku bakungu be aliba w’amaanyi okumusinga era alifuga obwakabaka bwe n’amaanyi mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kabaka w'obukiikaddyo aliba wa maanyi, era omu ku balangira be alifuuka wa maanyi okumusinga, alifuga obwakabaka obulisinga obubwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka ow'ebukiikaddyo aliba wa maanyi, wabula omu ku bakungu be alifuuka wa maanyi okumusinga, n'afuga obwakabaka obugaziyiziddwa okusinga obubwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabaka w'obukiika obwa ddyo aliba n'amaanyi, era omu ku bakulu be: n'oyo aliba n'amaanyi okumusinga, alifuga: okufuga kwe kuliba okufuga okunene.