Daniel 11:6 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waliyitawo emyaka, balyegatta wamu n’omuwala wa kabaka ow’obukiikaddyo, aligenda eri kabaka ow’obukiikakkono okumwegattako, naye talisigaza buyinza bwe so ne kabaka newaakubadde ezzadde lye tebaliwangaala. Mu biro ebyo aliweebwayo ye n’abo baayita nabo mu lubiri, awamu ne kitaawe, era n’oyo eyamuwagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga wayiseewo emyaka, balyegatta wamu: omuwala wa kabaka w'obukiikaddyo alifumbirwa kabaka w'obukiikakkono okusobola okunyweza enkolagana yaabwe. Kyokka obufumbo bwabwe tebuliwangaala. Omumbejja oyo alittibwa awamu n'abaweereza be bonna abaliba bagenze naye, ne bba, era ne mutabani waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waliyitawo emyaka, balissaawo enkolagana eyaawamu. Olw'okwagala okunyweza enkolagana eyo, muwala wa kabaka w'ebukiikaddyo aligenda n'afumbirwa kabaka w'ebukiikakkono, kyokka obufumbo bwabwe tebuliwangaala. Omumbejja oyo, alittibwa, awamu n'abaweereza be bonna abaliba bagenze naye, ne bba, era ne mutabani waabwe. Mu nnaku ezo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emyaka bwe girimala okuyitawo balyegatta wamu: n'omuwala wa kabaka w'obukiika obwa ddyo alijja eri kabaka w'obukiika obwa kkono okulagaana: naye omuwala taliba na maanyi ga mukono gwe: so n'oyo taliyimirira, newakubadde omukono gwe: naye omuwala aliweebwayo, n'abo abaamuleeta, n'oyo eyamuzaala, n'oyo eyamuwa amaanyi mu biro ebyo.