Daniel 11:7 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ow’omu lulyo lwe, yaalitwala ekifo kye; alirumba eggye lya kabaka ow’obukiikakkono n’ayingira mu lubiri lwe, era alibalwanyisa n’abawangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omu ku b'oluganda b'omumbejja oyo, alifuuka kabaka. Alirumba eggye lya kabaka w'obukiikakkono n'aliwangula,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omu ku b'oluganda lw'omumbejja oyo, alifuuka kabaka ng'asikira kitaawe. Alirumba eggye lya kabaka w'ebukiikakkono, n'ayingira ekigo kya kabaka oyo ekigumu, era alibalwanyisa n'abawangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu mwana ow'omu bikolo bye muliva omu aliyimirira mu kifo kye, alijja eri eggye, era aliyingira mu kifo kya kabaka w'obukiika obwa kkono, alibalumba, era aliwangula;