Daniel 11:8 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliddira bakatonda baabwe n’ebifaananyi byabwe ebisaanuuse n’ebintu byabwe eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu n’abitwala e Misiri, era alimala ebbanga nga tazzeeyo kulumba kabaka w’obukiikakkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne bakatonda baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, alibinyaga n'addayo nabyo e Misiri. Era alimala emyaka nga tazzeemu kulumba kabaka w'obukiikakkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alinyaga balubaale baabwe abakoleddwa mu bintu ebisaanuuse, era alinyaga n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, n'addayo nabyo e Misiri. Alimala emyaka nga tazzeemu kulumba kabaka w'ebukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne bakatonda baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, alibinyaga alibitwala mu Misiri: era alimala emyaka egimu ng'aleka kabaka w'obukiika obwa kkono.