Daniel 12:1 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era mu kiseera ekyo Mikayiri, omulangira omukulu, omukuumi w'abantu abo alirabika. Walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu kiseera ekyo buli muntu aliba nga yawandiikibwa mu kitabo, aliwonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'ayongera okugamba nti: “Mu nnaku ezo, Mikayeli malayika omukulu omukuumi w'abantu bo, alirabika. Era walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu nnaku ezo, abantu bo bonna abaliba bawandiikiddwa mu kitabo, balitalizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu biro ebyo Mikayiri aliyimirira, omulangira omukulu ayimiririra abaana b'abantu bo: era waliba ekiseera eky'okunakuwaliramu, ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga okutuusa ku biro ebyo: era mu biro ebyo abantu bo baliwonyezebwa, buli alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo.