Daniel 12:10 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye ab’amagezi baliba n’okutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abalitukuzibwa; naye ababi balyeyongera okukola ebibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abo abalina amagezi balitegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi balinaazibwa, ne batukuzibwa, ne bazzibwa buggya, naye bo ababi balyeyongera kukola bibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abalina amagezi, balitegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abaliwoomezebwa: naye ababi balikola ebibi: so ku babi tekuliba abalitegeera: naye abo abalina amagezi balitegeera.