Daniel 12:11 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“N’okuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ng’eggyiddwawo n’eby’emizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekizikiriza, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda (1,290).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekyenyinyalwa, walibaawo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu kyenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kasooka ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna kiggibwawo, eky'omuzizo ekizikiriza ne kiyimirizibwa, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.