Daniel 12:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka n’oweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo. Ojja kufa, naye olifuna omugabo gwo, mu kiseera eky'oluvannyuma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ggwe beera mwesigwa, okutuusa ku nkomerero. Okufa olifa, naye olizuukira, n'ofuna empeera yo, mu kiseera eky'oluvannyuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo: kubanga oliwummula, era oliyimirira mu mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.