Daniel 12:2 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu okwesiima mu bulamu obutaggwaawo, n'abamu okubonaabona mu nsonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bangi ku abo abeebaka mu nfuufu ey'oku nsi balizuukuka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okutaggwaawo.