Daniel 12:4 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno n’eri, era n’okumanya n’amagezi kulyeyongera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe, Danyeri, kuuma ebigambo bino nga bya kyama, ssa akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero. Bangi balidduuka nga badda eno n'eri, n'okumanya kulyeyongera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe Daniyeli, kuuma obubaka buno nga bwa kyama, era ekitabo okisibeko envumbo, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero. Bangi balidduka nga badda eno n'eri, era okumanya kulyeyongera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, Danyeri, bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n'okumanya kulyeyongera.