Daniel 12:5 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Danyeri ne ndyoka ndaba, laba babiri abalala nga bayimiridde mu maaso gange, omu ku lubalama lw’omugga olumu, n’omulala ku lubalama lw’omugga olulwolekedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nze Danyeri, ne ndyoka ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nze Daniyeli, ne ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri, nga bayimiridde ku lubalama lw'omugga, omu emitala w'eno, n'omulala emitala w'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Danyeri ne ndyoka ntunula, era, laba, abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri.