Daniel 12:6 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bo n’agamba omusajja, eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena nti, “Kiritwala bbanga ki ebyewuunyisa ebyo byonna okutuukirira?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omu ku bo n'abuuza omusajja eyali ayambadde olugoye lwa bafuta, nga ayimiridde waggulu w'amazzi g'omugga, nti, “Eby'ekitalo ebyo birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo, n'abuuza omusajja eyali ayambadde engoye enjeru, era ng'ayimiridde ku mazzi g'omugga nti: “Ebyewuunyisa ebyo, birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omu n'agamba omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, nti Eby'ekitalo ebyo birituusa wa okukoma?