Daniel 12:7 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena, n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, ne mmuwulira ng’alayira eri oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, ng’ayogera nti, “Waliyitawo ebbanga lya myaka esatu n’ekitundu. Era amaanyi g’abantu abatukuvu bwe galimalibwawo, ebintu ebyo byonna ne biryoka bituukirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira omusajja oyo eyali ayambadde bafuta, nga ayimiridde waggulu ku mazzi g'omugga, ng'agolola waggulu emikono gye gyombi, eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti, ekiseera n'ebiseera n'ekitundu kye kiseera. Bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja oyo ayambadde ebyeru, era ayimiridde ku mazzi g'omugga, n'agolola waggulu emikono gye gyombi, n'alayira Oyo Omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti: “Giriba emyaka esatu n'ekitundu. Bwe balimala okumalamu abantu ba Katonda amaanyi, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, ng'agolola omukono gwe ogwa ddyo n'omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna, nga birituusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera: era bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo: