Daniel 12:9 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’anziramu nti, “Weetambulire makubo go, Danyeri, kubanga ebigambo bibikiddwako era n’ekitabo kissibbwako envumbo okutuusa ekiseera eky’enkomerero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu nti, “Kwata amakubo go Danyeri ogende, kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'aŋŋamba nti: “Daniyeli, kwata makubo go ogende, kubanga ebigambo ebyo, bya kukuumibwa nga bya kyama, era nga bisirikiddwa, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kwata amakubo go Danyeri: kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero.