Daniel 2:10 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Ate era tewabangawo kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, yali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna, newakubadde omufumu yenna, newakubadde Omukaludaaya yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeetegereza eby'emmunyeenye ne baddiramu mu maaso ga kabaka nti: “Tewali muntu n'omu ku nsi ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Tewali kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, eyali abuuzizza omulaguzi, wadde omufuusa, newaakubadde oyo eyeetegereza eby'emmunyeenye, ekintu ekifaanana ng'ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakaludaaya ne baddiramu mu maaso ga kabaka, ne boogera nti Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okulaga ekigambo kya kabaka: kubanga tewali kabaka newakubadde omukungu newakubadde owessaza eyali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna newakubadde omufumu yenna newakubadde Omukaludaaya yenna.