Daniel 2:11 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka ky’asaba kizibu nnyo. Tewali n’omu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo ky'osaba, ayi kabaka, kizibu nnyo, era tewali ayinza kukitegeeza kabaka, wabula bakatonda abatabeera mu ffe abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo ky'osaba, ayi Ssaabasajja, kizibu nnyo, era tewali ayinza kukikumanyisa, okuggyako balubaale, ate balubaale tebabeera mu ffe bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekigambo kino tekirabwanga kabaka ky'awaliriza, so tewali ayinza okukiraga mu maaso ga kabaka, wabula bakatonda abatatuula na balina emibiri.