Daniel 2:14 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Danyeri n’asisinkana Aliyooki omuduumizi w’abakuumi ba kabaka, bwe yali ng’agenda okutta abagezigezi ab’e Babulooni; n’ayogera naye mu magezi n’obukalabakalaba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Danyeri n'atuukirira Aliyooki omukulu wa basserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab'e Babbulooni, n'ayogera naye n'amagezi n'obwegendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Daniyeli n'atuukirira Ariyooki, omukulu w'abaserikale ba kabaka, eyajja okutta abawi b'amagezi ab'omu Babilooni, n'ayogera naye n'amagezi era n'obwegendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Danyeri n'addamu n'amagezi n'obukabakaba Aliyooki omwami wa baserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab'e Babulooni: