Daniel 2:15 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky’obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n’annyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abuuza Aliyooki omwami wa kabaka nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky'obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n'alyoka ategeeza Danyeri ensonga eyavaako ekigambo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abuuza Ariyooki omukungu wa kabaka nti: “Lwaki kabaka ayanguyirizza okuwa ekiragiro ekyo?” Ariyooki n'akinnyonnyola Daniyeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'addamu n'agamba Aliyooki omwami wa kabaka nti Kiki ekyanguyiriza bwe kityo etteeka eriva eri kabaka? Aliyooki n'alyoka ategeeza Danyeri ekigambo ekyo.