Daniel 2:18 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba basabe Katonda ow’eggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu ag’ekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba basabe Katonda owo mu ggulu abakwatirwe ekisa abalage amakulu g'ekyama ekyo, baleme kuzikirizibwa awamu n'abagezigezi abalala ab'e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
basabe Katonda ow'omu ggulu abakwatirwe ekisa ku by'ekyama ekyo, baleme kuttirwa wamu n'abawi b'amagezi abalala ab'omu Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
basabe Katonda ow'omu ggulu okubasaasira olw'ekyama ekyo: Danyeri ne banne baleme okuzikirira awamu n'abagezigezi abalala ab'e Babulooni.