Daniel 2:20 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe, kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'agamba nti, “Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n'emirembe: kubanga amagezi n'amaanyi bibye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'agamba nti: “Katonda atenderezebwe emirembe n'emirembe, kubanga mugezi era wa maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Danyeri n'addamu n'agamba nti Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n'emirembe: kubanga amagezi n'amaanyi gage: