Daniel 2:21 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ategeera ebiseera n’ebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era n’okumanyisa abo abategeevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo y'akyusa ebiseera n'ebiro, aggyawo era assaawo bakabaka. Awa amagezi abagezigezi, n'okumanyisa abo abategeevu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye akyusa ebiseera n'obudde, ye aggyawo era ye assaawo bakabaka. Ye awa abantu amagezi, era ye abagabira okutegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era oyo ye awaanyisa ebiro n'ebiseera: aggyawo bakabaka, era assaawo bakabaka: awa amagezi abagezigezi, n'okumanya eri abo abamanyi okutegeera: