Daniel 2:23 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange ompadde amagezi n’amaanyi, ombikkulidde ekyo kye twakusabye, otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwebaza, nkutendereza, ayi ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegeezezza ekigambo kya kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwebaza, nkutendereza, ayi Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye. Otumanyisizza ekyo, kabaka kye yeetaaga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwebaza, nkutendereza, ai ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegeezezza ekigambo kya kabaka.