Daniel 2:26 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'addamu n'agamba Danyeri, erinnya lye eddala Berutesazza, nti, “Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnaloota, n'amakulu gaakyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kuddamu, kabaka n'agamba Daniyeli, erinnya lye eddala Belutesazzari, nti: “Oyinza ggwe okuntegeeza ekirooto kye naloota, era n'amakulu gaakyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'addamu n'agamba Danyeri, erinnya lye Berutesazza, nti Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnalaba, n'amakulu gaakyo?