Daniel 2:27 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Danyeri n’addamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Danyeri n'addamu kabaka, nti, “Ekyama ky'owalirizza, abagezigezi okukikutegeeza, tebayinza kukikutegeeza nakatono, wadde abafumu, abasawo n'abalaguzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Daniyeli n'addamu nti: “Ayi Ssaabasajja, ekyama ky'osabye, teri bawi ba magezi bayinza kukikutegeeza, wadde abafuusa, n'abalaguzi, n'abeetegereza eby'emmunyeenye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Danyeri n'addiramu mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Ekyama kabaka ky'awalirizza, abagezigezi tebayinza kukiraga kabaka newakubadde abafumu newakubadde abasawo newakubadde abalaguzi: