Daniel 2:28 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, oyo ya kutegeezezza Ayi kabaka Nebukadduneeza, ebiribaawo mu nnaku ez'enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye bino:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama. Oyo akumanyisizza, ayi Ssaabasajja Nebukadunezzari, ebiribaawo mu biseera ebijja. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwalagibwa mu kitanda kyo, bye bino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, era ategeezezza kabaka Nebukadduneeza ebiribaawo mu nnaku ez'enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye biibino