Daniel 2:29 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe wali ng’ogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ai kabaka, bwe wali mu kitanda kyo nga weebase, waloota ebiribaawo oluvannyuma, era Katonda abikkula ebyama akutegeezezza ebiribaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe wali mu kitanda kyo nga weebase, ayi Ssaabasajja, waloota ebiribaawo, era Katonda abikkula ebyama, yakulaga ebiribaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ggwe, ai kabaka, ebirowoozo byo ne bikujjira ku kitanda kyo, ebiribaawo oluvannyuma: naye abikkula ebyama akutegeezezza ebiribaawo.