Daniel 2:30 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze, ekyama kino kimbikkuliddwa, si lwa kuba ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna abalamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa Ayi kabaka, otegeezebwe amakulu g'ekirooto kyo, era naawe otegeere ebirowoozo eby'omu mutima gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze, ekyama kino kimbikkuliddwa, si lwa kuba nti ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna abalamu, wabula kimbikkuliddwa olyoke omanye, ayi Ssaabasajja, amakulu g'ekirooto kyo, era otegeere ebirowoozo ebyakujjira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa nze olw'amagezi gonna ge nnina okusinga omuntu yenna omulamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa kabaka ategeezebwe amakulu, naawe otegeere ebirowoozo eby'omu mutima gwo.