Daniel 2:31 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe, Ayi kabaka, watunula, n'olaba ekifaananyi ekinene, ekimasamasa era nga kya ntiisa, nga kiyimiridde mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Watunula, ayi Ssaabasajja, n'olaba ekifaananyi ekinene, nga kiyimiridde mu maaso go. Ekifaananyi ekyo kyali kimasamasa nnyo, era nga kya ntiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe, ai kabaka, watunula, era, laba, ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo, eky'amaanyi, ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira mu maaso go: n'engeri yaakyo ya ntiisa.