Daniel 2:35 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyuma n’ebbumba, n’ekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro mu biro eby’omusana omungi; kibuyaga n’abifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo ekyuma, n'ebbumba, n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo kantu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ekyuma, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu, ne bimementukira wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo na kalabika. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne libuna ensi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyuma, n'ebbumba n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro ekyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala bwe zityo n'okulaba ne bitalaba bbanga: n'ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.