Daniel 2:38 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
yassa mu mikono gyo, abantu bonna gyebali, ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga, okubifuga. Ggwe mutwe ogwa zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yassa mu buyinza bwo abantu, n'ebisolo, n'ebinyonyi, n'akufuula omufuzi waabyo byonna, yonna gye bibeera. Ggwe mutwe ogwa zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era abaana b'abantu gye batuula yonna, yagaba ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu ggulu mu mukono gwo, era yakubifuza ggwe byonna: ggwe oli mutwe gwa zaabu.