Daniel 2:4 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakaludaaya ne balyoka baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: buulira abaddu bo ekirooto, nabo banakutegeeza amakulu gaakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeetegereza eby'emmunyeenye ne bagamba kabaka mu lulimi Olwaramayika nti: “Wangaala, ayi Ssaabasajja! Tukwegayiridde tubuulire kye waloose, ffe abaweereza bo, tukubuulire amakulu gaakyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakaludaaya ne balyoka bagamba kabaka mu lulimi Olusuuli nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: obuulire abaddu bo ekirooto, naffe tunaalaga amakulu gaakyo.