Daniel 2:40 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obw’amaanyi ng’ekyuma; era ng’ekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ng’ekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya bintu byonna. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwakabaka obwokuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya ebintu byonna ne kibijeemulula. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma: kubanga ekyuma kimenyaamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng'ekyuma ekibetenta ebyo byonna, bwe bulimenyaamenya bwe bulibetenta bwe butyo.