Daniel 2:41 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe walaba ebigere n’obugere ekitundu nga kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala n’amaanyi ag’ekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nga bwe walaba ebigere n'obugere, ng'ekitundu kya bbumba lya mubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka obwo buliba bwawulemu. Naye bulibaamu ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nga bwe walaba ebigere n'obugere, ng'ekitundu kya bbumba lya mubumbi, ate ekitundu nga kya kyuma, obwakabaka obwo buliba bwawulemu. Bulibaamu ku maanyi ag'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga walaba ebigere n'obugere, ekitundu kya bbumba ery'omubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi.